Isaiah 2

Olusozi lwa Mukama

1 aKuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.

2 bOlulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma

olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
era amawanga gonna galilwolekera.
3 cAbantu bangi balijja bagambe nti,

Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
4 dAlisala enkaayana z’amawanga,
aliramula emisango gy’abantu bangi,
era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.

Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya

5 eGgwe ennyumba ya Yakobo,
mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
6 fWayabulira abantu bo
ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
era basizza kimu ne bannamawanga.
7 gEnsi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu,
n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo:
ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
8 hEnsi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe,
basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo,
engalo zaabwe gwe zeekolera.
9 iKale omuntu wa kukkakkanyizibwa,
omuntu wa kussibwa wansi.
Mukama, tobasonyiwa!

10 jMugende mwekweke mu njazi,
mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,
nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,
nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
11 kOlunaku lujja okweyisa kw’omuntu
n’amalala ge lwe birizikirizibwa,
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.

12 lKubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese
eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,
eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde
okwemanya n’okwewulira.
13 mAlizikiriza emiti gy’omu Lebanooni,
Lebanooni kitundu ekiri mu buvanjuba bwa Yoludaani, ekimanyiddwa olw’emivule gyayo n’ente ennyingi
emiwanvu emigulumivu,
n’emivule gyonna egya Basani.
14 oEra n’ensozi zonna empanvu,
n’obusozi bwonna obugulumivu.
15 pNa buli mulongooti gwonna omuwanvu,
na buli bbugwe gwe bakomese.
16 qAlizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi,
n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
17 rEra okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka,
n’amalala g’abantu galissibwa;
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
18 sN’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.

19 tAbantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,
ne mu binnya mu ttaka,
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
20 uKu lunaku olwo abantu balisuulira ddala
bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu,
be beekolera nga ba kusinzanga,
ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
21 vBalidduka ne beekukuma mu mpuku
ez’amayinja amaatifu
nga badduka entiisa
n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
bwaliyimuka okukankanya ensi.

22 wMulekeraawo okwesiga omuntu
alina omukka obukka mu nnyindo ze.
Kiki ennyo kyali?
Copyright information for LugEEEE